Okujjukira Janani Jakaliya Luwum

Share this Story:

Uganda ne Bugerenza (England)  zasalawo  okujjukiranga  emirimu egyamaanyi Ssaabasumba Janani Luwumu gyeyakola ng’akyali mu bulamu bw’e nsi, nebasalawo mukumuteerawo olunnaku ow’e kijukizo nga buli nga 16/02 wadde nga yo Bungereza emujukira nga 17/02.

Banna Uganda bajjukira ssaabasumba ono, nga omusajja eyali munnaddiini omukuukuutivu ennyo ate nga ayagaliza buli muntu  okuba obulungi.

Kinajukirwa nti Luwumu yafuna obwa ssaabadinkoni  mu 1953 kyoka mu mwaka ogwadako nafuuka priest.

 

 

Mu 1969 yafuuka Bishop mu mambuka ga Uganda e Gulu ( Nothern Uganda) era nga awo weyava nafuuka ssaabalabirizi w’e nzikiriza za makanisa gabakulisitaayo(Church of Uganda Arch Bishop) okuva mu 1974 okutuusa mu 1977 weyafiira.

Olw’okwagala okungi kweyalina eri abantu be, Luwumu teyasirikanga bweyalaba nga  engeri gavumentu ya Idi Amini (1971) gyeyatulugunyangamu abantu saako nokubabuzangawo mungeri etamanyibwa ngako mayitire, n’olwensonga eyo ono, okwemulugunyakwe yakuyisa mu kiwandiiko ekyatwalibwa eri eyali omukulembeze weggwanga mukaseera ako ekigambibwa okuba nga kyekyamuvirako okugenda okutiibwa.

Oluvannyuma lwekiwandiiko eri President, mangu ddala  Ssaabasumba yasomerwa omusango ogw’okulya mu nsi ye olukwe.

Okusinziira ku gavumenti ya Amin nga beyambisa omukutu gwa Radio Uganda (current UBC) baayisa ekirango nti Luwum yafunye akabenje mummotaoka ye bweyatomeraganye nendala nti kwe kwava ensibuko y’okufa kwe.

The Late Janani Luwum

Kyoka ate okusinziira kubatuuze abaliwo mu kaseera bo bagamba nti okufa kwe kwandiba nga lwali lukwe lwa gavumenti ya Amini kubanga yaalinga nkola ye eyokubuzzangawo saako nokusaannyawo abo beeyalabanga nga bamulemesa.

Noluvanyuma omubiri gwa ssaabasumba gwatwalibwa mu disitulikit y’eKitgum gye gwagalamizibwa.

wabula oluvanyuma lwokulaba omubiri nga gujudde ebitulituli nga ebyamasasi awo nno abatuuze bakakasa nga ssaabasumba gyebamukubamu amasasi mu kamwa agatamanyikibwa muwendo, saako namalala asatu (3) agamukubwa mu kugulu, era wano minisita eyali ow’ ensonga zebyobulamu mukiseera ekyo Henry Kyemba,wano weyasinziira nawandiika akatabo nakawa omutwe ” a state of blood”.

Olunnaku luno lwatekebwawo omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, era nga lwa tandiika mu 2015.

 

Bishop Janan Lumum neyali President wa Uganda Idi Amin

5,303 total views, 7 views today