OW’EKITIIBWA AYIMIRIZA MBAGIRAWO OKUWANDIISA ABASAWO B’EKINNANSI MU BUDDU

Share this Story:

Katikkiro w’ebyobuwangwa n’ennono mu bwakabaka Bwabuganda Ow’ekitiibwa Ggaliwango AbdulNoor alagidde okyokuwandiisa abasawo b’ekinnansi ekikolebwe naddala mussaza lye Buddu kuyimirire kuba kuleese obutakkaanya mu basawo ekintu ekyonoona ennyo eby’obuwangwa,
Okwogera bino asinzidde mulukungaana lw’abasawo b’ekinansi abayitiddwa omukungu Lutaaya Vicent Kimbowa atwala eby’obuwangwa n’ennono mussaza ly’ebuddu okumalawo obukuubagano obuli mu basawo nga kwossa n’okutema empenda ez’okweteekerateekera omutanda mu buddu.
Muno ow’ekitiibwa Galiwango mwasinzidde nategeeza nti empandiisa y’abasawo bano si nnambulukufu nti era yatuukiridde akulira ba RDC mubbendobendo lino Mukasa Kityo ow’ebukomansimbi namusaba okuwandiisa kuyimirire nti kuba kwandibanga kukontana n’obuwangwa n’ennono nga kwetaaga okwetegereza

Ow’ekitiibwa yagenze mu maaso nasaba akulira abasawo b’ekinnansi mubbendobendo lino ery’ebuddu Ssalongo Kayinga Kiggundu okwata ensonga y’okuwandiisa abasawo n’obwegendereza okusobola okutaasa eby’obuwangwa n’ennono nti kuba bino byebimu kubyafaayo bya Buganda

Wabula akiikiridde ekibiina kya National Council for Traditional Healers and Habalist Association akakiiko akatondebwaawo president okulungamya n’okuwandiika abasawo abaganda nga kaliwamu nab’ebyokwerinda Ssalongo Kayinga Kiggundu ng’ono ye ssentebe wabasawo abaganda mubbendobendo lino ery’eMasaka, asinzidde muno nategeeza nti basabibwa govammenti ya Buganda neya Uganda okuwandiisa abasawo bonna okwongera okunyweeza eby’okwerinda olw’ensonga nti abamenyi baamateeka babadde beyambisa amasabo okunyaga n’okutta abantu

Abasawo b’ekinnansi basinzidde mulukungaana luno nebasaba obwakabaka bubataase olw’ebyobuwangwa byabwe ebirinnyirirwa ensangi zino mumirimu gyabwe olw’ensonga nti ebibiina ebibawandiisa bibajjako omutitimbe gw’ensimbi nyingi ate nebirala nebisigala nga bibatulugunya

Wabula Lutaaya Vicent Kimbowa atwala eby’obuwangwa n’ennono mu buddu era nga yeyatuuziza olukiiko luno agambye nti abantu be abakola omulimu guno banyigiriziddwa nnyo mu bbuddu olw’ebibiina eby’esowolayo buli kaseera nga babagyako ensimbi eziwera nga babawa ebbaluwa kyavumiridde ennyo ng’amalya gensimbi..wabula asabye nti buli muntu aweebwe eddembe okubeera gyayagala kuba nabakulira ebibiina buli omu agamba president amumanyi

6,526 total views, 3 views today

Leave a Reply

Your e-mail address will not be published. Required fields are marked *